Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 255 listening Simba FM Live

Ennyonyi ya Ehtiopian Airways ey’emigugu ekutte omuliro

July 22, 2020 · Mubiru Ali
Ennyonyi ya Kkampuni ya Ethiopian Airlines Boeing 777F ekutte omuliro ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Shanghai Pudong International Airport bwebabadde bakyatikka emigugu.
Ennyonyi eno nga ebadde etikka migugu nga bulijjo okugiggya e Shanghai Pudong okugitwala e Sao Paolo, ne Santiago.
Ekivuddeko omuliro guno tekinategeerekeka era nga kigambibwa nti gwonoonye ekitundu ku Aft webaguzikiririzza.