Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 109 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Enkyuukakyuuka ezakoleddwa mu Kkooti e Masaka zisibye okweyimirirwa kw’Ababaka ba NUP

October 14, 2021 · Mubiru Ali
Enkyukakyuka ezakoleddwa mu Kitongole ekiramuzi mu Disitulikiti y’e Masaka zireesewo omukoosi mu kusaba kw’abakaba Bannakibiina kya National Unity Platform Muhammad Ssegirinnya ne Allan Ssewanyana okwokweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti.
Omulamuzi omukulu Dr. Flavian Zeija yakoze enkyuukakyuka, Lawrence Tweyanze mweyafuuliddwa omulamuzi akulira Kkooti enkulu e Masaka.
Okusinziira Musa Matovu okuva mu Lukwago & Co. advocates nga bano bebamu ku Bannamateeka babasibe, agamba nti omulamuzi Tweyanze akyaganye okuwulira okusaba kw’ababaka okwokweyimirirwa ku misango emigya egyabongerwako nga gyonna gy’ekuusa ku ttemu ery’ebijjambiya mu eryali e Masaka.
Eyabadde omulamuzi omukulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba yawereddwa obuvunaanyizibwa obulala mu Kkooti yayimbula Ababaka ku kakalu ka Kkooti ku misango egyasooka wabula oluvannyuma Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavaayo nawakanya eky’okuyimbula ku kakalu ka Poliisi ne kkooti abasibe ababa abazizza emisango egya nnagomola.