Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 311 listening Simba FM Live

Enkulungo y’e Naalya ku Northern Bypass yakuggalwa okumala emyezi 2 – UNRA

July 21, 2020 · Mubiru Ali
Enkulungo ya Naalya ku luguudo lwa Northern Bypass okuliraana oluguudo lwa Kamuli okutandika n’olwokuna lwa wiiki eno yakuggalwa okumala ebbanga lya myezi ebiri, ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo ekya Uganda National Roads Authority – UNRA bwekitegeezezza.
Okusinziira ku kiwandiiko kya UNRA enkulungo eno yakuggalwa okusobozesa abakola oluguudo lwa Northern Bypass okukola emirimu gyabwe.
Ab’ebidduka mwenna mukubirizibwa okukozesa oluguudo olumanyiddwa nga East Africa ne Kaduyu eziyita okuliraana ne offiisi za National Council for Higher Education, Uganda.