enkuba erese abatuuze ku byalo 6 nga bakaaba twawa

Abatuuze ku byalo mukaaga okuli; Kyattuulo, Gayaaza A ne B, Kasekera, Kyamayiba n’e kidokolo ebisangibwa mu ggombolola y’e Mijwala mu Disitulikiti y’e Ssembabule bali basigadde mu lwayaba oluvannyuma lwenkuba erimu n’ekibuyaga okusaanyawo ebirime naddala ebitooke saako okutikkulako obusolya ku nyumba nebasigala nga tebalina we beegeka luba.
Ku nnyumba ezitikkuddwako obusolya kuliko n’essomero lya Gavumenti erya Kyamayiba Primary school nga bano basabye Gavumenti ebadduukirire n’obuyambi bw’emmere saako amabaati kuba bali mu mbeera mbi.
Omubaka wa Pulezidenti esembabule Mathias Kintu Musoke atuuse mu kitundu kino n’abasaasira olw’okufiirwa ebintu byabwe nga kino akitadde ku bantu abasaanyawo emiti ne boonoona obutonde bwensi wabula n’abasuubiza nti awaddeyo eddoboozi lyabwe eri be kikwatako okulaba nga bayambibwa

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Kitalo! Omukazi afiiridde mu Ddwaliro e Mityana lwabutaba na ssente