Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 125 listening Simba FM Live
News

Enkuba ekedde okutonnya erese enguudo eziwerako mu Kampala nga zisaliddwako

April 18, 2024 · Mubiru Ali
Enkuba eyatandise okutonya mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa nga kumi ezookumakya erese enguudo eziwerako mu Kampala nga sizaliddwako amataba okuli n’olwa Kinawataka – Kireka.
Abagoba b’ebidduka bamaze essaawa eziwerako mu kalippagano k’ebidduka okusobola okuyingira Kampala. Mu masangazira g’e Katoogo olutindo lwabuliddemu era abatuuze bategeezezza nti waliwo owa booda booda eyaguddemu amazzi negamutwala ku makya bweyabadde agezaako okusala.