Enkuba egoyezza ab’e Mubende

Enyumba 80, amasomero 3 ne kanisa 2 zitikuddwako obusolya mu namutikwa we enkuba eyafudembye e Mubende. Enjega eno yagudde ku kyalo ky’e Butayunja LC 1 mu Ggombolola y’e Kitenga mu Disitulikiti ye Mubende.
Sentebe we kyalo kino Ssentaba George William nga ali wamu n’omukiise akikirira e Ggombolola eno ku lukiiko lwa Disitulikiti y’e Mubende Williams Ndooli yategeezezza nti amasomero 3 okuli Butayunja Dam Primary School, Butayunja Parents Primary School ne Katikkiro Nursery and Primary School ne kanisa 2 okuli Butayunja Seventh Day Adventist Church ne Hope of Glory Centre Butayunja wamu ne enyumba za batuuze 80 byatikuddwako obusolya n’endala nezigwiira ddala ku ttaka.
Banyonyodde nti mukiseera kino abayizi ebyokusoma babivuddeko oluvanyuma lw’ebibiina byabwe okutikulwako obusolya so nga n’abatuuze basobeddwa eky’okukola oluvannyuma lw’ennyumba zaabwe okutikulwako obusolya .
Enkuba eno yemu yagoyagoyeza ennimiro z’abatuuze okuli ensuku za matooke, emwanyi, muwogo kwogata ne ebijanjalo ne kasooli byonna byasanyiziddwawo ekintu ekiyinza okubaviraako okufuna enjala.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Principle State Attorney asimbiddwa mu kkooti