Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 107 listening Simba FM Live
News

Enkola y’ekibiina enaku zino yakuyita ku mutimbagano? – Hon. Mpuuga

March 29, 2024 · Mubiru Ali

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nayanukula ku kiwandiiko ekitambuzibwa nti kyawandiikiddwa Pulezidenti wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ngamuyimiriza; “Eri Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Kampala. Ku nsonga yokuyimirizibwa ku kifo ky’omumyuuka wa Pulezidenti. Ndabye ekiwandiiko ekitambuzibwa ku mikutu gya ‘social media’ nga kiraga nti ggwe wakitaddeko omukono mu nkola empya ey’ekibiina. Bwekiba ng’ekiwandiiko kino ggwe wakitaddeko omukono, nsiima era nenkusaasira naddala ku mbeera eriwo kati. Ntegeera embeera gyolimu eyokusoberwa. Bwensinziira ku biri mu kiwandiiko nti omuntu eyayimiriziddwa yalemererwa okunnyonyola obulungi so nga omuntu yomu oyo wategeeza nti yakiriza ensobi ye era neyetonda, simanyi ngeri gyenyinza kununula ggwe n’ekibiina okuva mu buwambe. Embeera eyokusoberwa kindaga nti netaaga okwewaayo obudde nebuuze ku kiyinza okukolebwa. Kiriza okusaasira kwange gyoli olwa byonna byogezezzaako okukola ebigaanyi nebikuviirako okukola okusalawo okukyamu ku mitendera egy’okuntikko egy’ekibiina. Nsigadde mu buweereza bwo n’obw’ekibiina n’eggwanga.”