Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 415 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Enjaga emuleetedde leenya

March 9, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi e Kireka mu munisipaali y'e Kira mu Disitulikiti y'e Kira eriko omukyala gwekutte neemuggalira oluvannyuma lw'okusangibwa lubona n’emisokoto gy'enjaga egiwelera ddala makumi asatu ssaako n’etali nzinge ate nga nendala nnyweko. 

Ono okukwatibwa kiddiridde abatuuze ku kyalo Kito Kirinnya mu Bweyogerere okwekubira enduulu eri Poliisi nga obumenyi bw'amateeka bususse mu kitundu kino era wano Poliisi nga ekulembeddwamu Nicholas Muyonjo kwe kusitukiramu nga eyatega ogw'ekyayi n'ekola ekikwekweto era nga ono  emusanze enjaga agikukumye wansi mu kitanda.

Omukwate ategerekese nga Teddy Nassuna myaka 24 nga agguddwako omusango gwo kusangibwa n'enjaga wabula bw'abuuziddwa akana n'akataano yeegaanye ekyo’kusangibwa nayo.