Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 224 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Enguudo zigenda kuggalwa e Jinja olw’embaga ya Kyabazinga

November 17, 2023 · Mubiru Ali

Mu kwetegekera embaga ya Kyabazinga William Nadiope Gabuala IV egenda okubaayo olunaku lw’enkya, Uganda Police Force erambise enkozesa y’enguudo egenda okugobererwa. Aduumira Poliisi y’ebidduka mu kibuga Jinja, Joachim Baluku ategeezezza nti olw’ebyokwerinda bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni n’ebyabagole, oluguudo oluva e Jinja okudda e Busia lugenda kuggalwa.
Pulezidenti n’abagole bajja kukozesa luguudo oluyitibwa Cathedral Road nga luno terugenda kukkirizibwako mmotoka ndala yonna so ng’ate enguudo ezimu ezegatta ku kkubo eddene nazo zijja kuba nzigale.
Ku zino kuliko oluguudo oluyitibwa Katende nolw’e Kamuli oludda ku Lubiri. Okusinziira ku Baluku, abakungu bajja kukozesa luguudo lwa Katende bagende mu Lubiri, gyebanasanga baasi za Kiira Motors ezigenda okubatwala ku kkanisa n’okubazza.