Engule ya 2017 eggyiddwako akawuuwo, etandikidde mu ggiya

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Libadde bbugumu lya maanyi nnyo akawungeezi ka leero ku mpewo za Luboggola Simba nga Ssentebe wa 📻 Simba,  Hajji Aga Ssekalala Jr. aggulawo Engule ya 2017 olukontana olusookedde ddala. 

Hajji Aga Ssekalala ayaniriziddwa Ssentebe w’ennyumba y’engule JJ Ssemanda ng’ayambibwako abalala abaweereza Engule omuli,  Waguma Kisuule,  Omuzaana Nansubuga Brenda, Kojja Kigudde ne Kaamusungusungu 

Engule eyakazibwako erya World Cup y’olulimi Oluganda, abagisookeddemu olwaleero  be bano : Abakontanyi abakulu,  

Timoseo Mayanja Ziwulugume ow’e Ngabi okuva e Bulemeezi, 

Ddamulira Ivan Kakeeto ow’o Mutima  okuva e Buddu

Kasule Herman Busungu eyeddira e Ngeye  okuva mu Kyaddondo n’endukusa zaabwe : Nsamba Erias Kasaato – myaka 08 – P.3

Lwogamata Nsimbiziwoome Yahaya – myaka12 – P.6

Kirumira Phillip Mugaggaaduula – myaka 09 – P.4.

Jjukira Ssengule oba Nangule abuukawo n’obukadde 18 n’ebirabo ebirala ate Endukusa enywedde muzinnewaazo akendo efuna obukadde buna songa ate Endukusa ewangula ne Ssengule efuna obukadde buna .

 

Share.

Leave A Reply