Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 84 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Engule – Kkoodi Kkoodi Zanzibar

November 17, 2016 · Mubiru Ali

Radio Simba ng’ eyita mu Pulogulaamu yaayo enganzi ebaawo ku buli nkomerero y’omwaka emanyiddwa nga Engule, egenda mu maaso n’okweriisa enkuuli mu kutumbula eby’obulambuzi mu bannayuganda naddala abawuliriza baayo  nga eyita mu nteekateeka ya Kkoodi kkoodi  ebaawo buli mwaka

Ku mulundi guno babbakkoodikkoodi abasoba mu 120 baabitaddemu ebiraato ku lwokuna lwa Ssabbiiti ewedde neboolekera  ebizinga kkulaamalungi eby’e Zanzibar ebisangibwa mu ggwanga lya Tanzania ebisomboola abantu okuva ebule n’ebweya omuli n’abazungu abaggya okulaba ebingi ebyewuunyisa ku kizinga kino.

Ekizinga kino kijjukirwa nnyo okuviira ddala ku mulembe gwa Sultan mu biseera Abafirika webaatundibwa mu buddu nga bakungaanyizibwa okuva mu mawanga ga Africa ag’enjawulo, nga bakungaanyizibwa e Bagamoyo ate oluvannyuma ne boolekezebwa e Zanzibar awaali akatale gaggadde.