Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 246 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Eng. moses magogo ayanjulidde obwakabaka enteekateeka ya fufa

March 22, 2019 · Mubiru Ali

Omukulembeze w’ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga engineer Moses Magogo, ayanjulidde obwakabaka enteekateeka ey’enjawulo ey’okulaakulanyamu omupiira naddala empaka z’amasaza n’engeri gyegulina okuddukanyizibwamu kisobozese abavujjirizi okugiwagira.

Bino Magogo abyanjulidde Kabineeti ya Kabaka mu Butikkiro e Mengo.

Magogo agambye nti obwakabaka nga bwagala okufuna ekisingawo mu mpaka z’amasaza, bulina okuteekawo enkola esobozesa abavujjirizi okuvaayo okuziwagira nga muno mulimu; okutumbula emikutu mukwanira wala, okuteekawo obukiiko okuviira wansi ku Masaza okutuukira ddala waggulu, wamu n’okufuna abakugu abasobola okuddukanya obulungi omupiira.

Katikkiro asinzidde wano naasaba FUFA efune langi entuufu eza tiimu y’eggwanga okufaananako n’amawanga nga Argentina, Germany n’amalala.

Eno yeemu ku nteekateeka obwakabaka zebulina mu kwongera okutumbula eby’emizannyo nga ne gyebuvuddeko Buganda yawa FUFA ettaka mu bitundu bye Lugazi okuzimbako ekisaawe eky’omulembe.