Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 247 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Endowooza yange ku bisiyaga emanyiddwa – Pulezidenti Museveni

June 7, 2023 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Endowooza yange ku bisiyaga emanyiddwa bulungi. Lwaki omuntu afuuka omusiyazi? Kiba kya buzaale, butakwatagana mu busimu oba bwa birowoozo? Ensisinkano yaffe n’abasawo abamu kyatuleetera okukiriziganya nti kiva ku ku kuwubisibwa mu bwongo. Kino kyatutuusa ku kibuuzo, nti omuntu bwabeera mu mbeera eno alina kubonerezebwa? Nedda, beetaaga obuyambi. Etteeka kati ligamba nti omusiyazi tajja kuvunaanibwa nga musango singa akyekuumira nga ye wabula ajja kukwatibwanga singa abiyingizaamu abalala. Singa agenda n’asobya ku mwana, guba musango era abeera alina okusibwa. Okubeera [omusiyazi] ekyo kiba kizibu kyo ng’omuntu wabula okukitumbula n’okusobya ku balala musango era kijja kukuleetera okusibwa n’okusalirwa ekibonerezo ky’okuttibwa.”