Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 474 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Enanga lekerawo okulimba Bannayuganda – Ofwono Opondo

June 18, 2019 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo avuddeyo nasambajja ebigambo ebyayogeddwa omwogezi wa Poliisi Fred Enanga ebikwatagana n’okunoonyereza kukuba ssente ezakubibwa abakungu ba Bbanka enkulu.

Ku bbalaza omwogezi wa Poliisi yavuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyazinzeeko amaka gabakungu ba Bbanka enkulu 6 nezuula ebiwandiiko ebyakozesebwa okulagira okukuba ssente ezensusuuba.

Wabula olunaku olwaleero Oponodo avuddeyo nayambalira Poliisi nga agamba lwaki embungeesa engambo.

Enanga yayongedde nategeeza nga Poliisi n’Akakiiko akalwanyisa obulyake n’obukenuzi okuva mu State House bwekakutte abantu 6 nga bali mu nkomyo wetwogerera. Wabula ye Enanga agamba nti tezaali nsimbi wabula ebyamaguzi ebirala byebyabuzibwawo. Enanga agamba nti bano batumya ebintu ebisinga kwebyo ebyali byetaagibwa okuli; Solar Machines, Batteries n’ebirala bingi nti era Gavumenti yo temanyi ku ssente ezakubwa Poliisi zeyogerako.

Opondo era avuddeyo nalabula nti ekitongole kya Gavumenti kyonna ekibungeesa engambo kyakukwatibwa n’omukono ogw’ekyuuma.