Breaking
News: Wuuno omuvubuka kati Nnaggagga awedde emirimu olwokutandikawo ogumu ku mulimu ogubadde tegukolebwangako mu nsi eno. News: Abawagizi mubakwateko, temubakiriza kuvuga kiddukka kyonna! News: PLU baagala kusirisa opposition bwebalowooza. Balaam beyaleka agobye bameka bebatutte mu Kkooti?!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 950 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Emyaka 33 emabega ku lusozi Nnagalabi Buddo, Kabaka wa Buganda owa 36, Maasomoogi Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo, eno yensonga

July 31, 2026 · Radio Simba

🎵 Emyaka 33 emabega ku lusozi Nnagalabi Buddo, Kabaka wa Buganda owa 36, Maasomoogi Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo, eno y’ensonga lwaki olunaku luno eri ffenna abantu ba Buganda okujaguza.

Ku lw’abantu ba Buganda bonna, ku lwa Gavumenti ya Kabaka, ku lwange n’aboomumaka gange, njozaayoza nnyo Omuteregga. Emyaka 33 tegibadde gya kyeya, ebibala tukungudde bingi ddala, kyokka ekibala ekisinze kwe kunnyikiza Obuwangwa bwaffe era Kabaka ategeerwa abakulu n’abato.

Nneebaza abantu ba Kabaka bonna abeetabye mu nteekateeka z’okujaguza emyaka 33 bukya Kitaffe Ssaabataka atuula ku Nnamulondo. Nneebaza ekkanisa ya Watoto olw’okutukulemberamu mu kusaba kw’omwaka guno, wamu n’Olukiiko oluteesiteesi olutukulembeddemu mu byonna.

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug