Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 225 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
Sports

Empaka z’amaato zitongozeddwa

May 5, 2019 · Mubiru Ali

Katikkiro atongozza empaka z’amaato mu masaza ga Buganda ku mwalo e Kiyindi mu Kyaggwe. Amasaza mwenda (9) gegavuganyizza olwaleero era Bulemeezi lyerisinze, Ssingo (2), Kyaggwe (3), Bugerere (4). Empaka z’akamalirizo za nga 8th June e Nabugabo era Ssaabasajja yasiima okuziggalawo.
Katikkiro agambye nti baagala okutumbula empaka zino nga bagoberera ennono eyasookawo ku nnyanja Nalubaale kubanga Kabaka yalina amaato ag’empingu nga gano gaavugibwanga okuva e Uganda okutuuka e Tanzania. Katikkiro asabye abatuuze b’e Kiyindi okwewala akawuka ka mukenenya kubanga ebirungi byebeegwanyiza gyebujja birina okubasanga nga balamu bulungi.