Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 349 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Emotoka y’omubaka esatizza ababaka bwebwatuse

November 19, 2021 · Mubiru Ali

Wabaddewo akajagalalo ku Palamenti motoka ekika kya Mercedes Benz GL20 CDI 4MATIC ey’omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Amuria Suzan Amero bwebwatuse nga bbomu buli omu nabuna emiwabu enkya yaleero ku ssaawa ssatu n’ekitundu ezokumakya.

Kino kidiridde Omubaka okuwanika emotoka eno bweyabadde ayita mu nguudo ezebinnya wabula bweyatuuse awatereevu neyerabira okugikakkanya mu mbeera mwerina okutambulira ku nguudo ennungi.

Emotoka eno osobola okugiwanika okusinziira ku mbeera y’oluguudo mwogenda okugivugira naddala ez’ebinnya nti wabula ddereeva waayo singa yerabira okugikakkanya okugizza werina okubeera ku nguudo ennungi yezzaayo oluvannyuma lwakaseera namaanyi erina ekola eddoboozi eryamaanyi.