Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 458 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Emotoka ya Reverend eyawambibwa Poliisi egisanze ku Woteeri e Mukono

February 11, 2020 · Mubiru Ali

Rev. Isaac Mwesigwa amyuka Viika wa Central Buganda era Reverend w’e Kasaka mu Gomba eyabuzibwawo ebintu bye bitandise okuzuulibwa. Okusinziira ku Mukyala we Deborah Mwesigwa, agamba nti baava e Kasaka mu kusaba ne boolekera e Kyebando era Rev Mwesigwa bwe yamala okubatuusa ye n’ayolekera e Mukono.Olunaku olwaleero Uganda Police Force ey’e Sseeta ezudde emotoka y’e ekika kya Toyota Raum nnamba UAR 468D mu kifo ekisulwamu ekya City Resort nga esangiddwamu essanduuke erimu engoye z’obwawule nga n’ebisumuluzo mwebiri. Kiteeberezebwa nti emotoka yandiba nga yasuuliddwa mu kifo kino ekiro ekyakeesezza olwa bbalaza.Abakola okunoonyereza bagamba nti bagezezzaako okwetegereza obutambi bwa vidiyo eziri ku muliraano mu kifo webawambira omwawule wabula nga zaali tezikwata byali mu kifo webamuwambira wabula nga ate ku kubo eriva e Ssonde okuda e Bukeerere tewali kkamera.