Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 229 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Emotoka ezatambuza Papa tezirabikako

October 19, 2018 · Mubiru Ali

Papa Francis bweyakyalako mu Yuganda mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu 2015 takozesa emotoka enzirugavu ekika kya Kia wamu n’enjeru ekika kya  Mitsubishi eyaliko endabirwamu mweyatambulira. Wabula oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga Papa agenze emotoka zino tezikubika kyamulubaale nga mpaawo kunnyonyola kutuufu kumayitire gaazo.

Omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti agamba nti amazima naye tamanyi motoka zino gyezalaga. Ye Willis Bashasha omukungu okuva mu offiisi ya Pulezidenti agamba nti emotoka zino bazirina era ziri mu parking yaabwe ku offiisi ya Pulezidenti.

Kinajjukirwa nti emotoka zino zagulwa obukadde 322, era nga ebiwadiiko ebireeteddwa biraze nti emotoka ekika kya Kia yagula emitwalo gya doola $35,940 bwebukadde nga 133,000,000/= ate yo  Mitsubishi yagula emitwalo gya doola $56,031 bwebukadde 188,000,000/=

Papa Francis asuubirwa okukomawo mu Yuganda mu mwaka ogujja omwezi ogw’omusanvu okwetaba mu lukiiko lw’abasumba okuva mu Afirika.