Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 490 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Emotoka erowozebwa okubeera enzibe esuuliddwa

March 25, 2021 · Mubiru Ali

POLIISI ESUUZIZZA ABANTU EMOTOKA: Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwewaliwo emotoka erowoozebwa okubeera enzibe eyasuuliddwa Poliisi bweyabadde egoba abagambibwa okubeera ababbi. Emotoka eno ekika kya Toyota Noah nnamba UAZ 339K (silver), kati esimbiddwa ku Oriyoi checkpoint oluvannyuma lwabagibaddemu okugisuulawo nebadduka. Bano babayimirizza nebagaana okuyimirira ku check point e Malaba nga babadde boolekera e Tororo Poliisi kwekusalawo okubagoba. Poliisi bweyakubye amasasi mu bbanga abagibaddemu nebeyokya ekisiko.