Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 150 listening Simba FM Live
News

Emmundu eyakozesebwa mu kutta Kagezi bagiba ku UPDF e Gulu

May 20, 2025 · Mubiru Ali

Kisekka Daniel Kiwanuka, eyali omusirikale w’Eggye lya UPDF akirizza omusango gwokutta DPP Joan Kagezi Namazzi mu 2015. Kisekka, eyadduka mu maggye e Gulu oluvannyuma lwokubba emmundu 5 ekika kya AK47 natandika okwokya amanda ku kyalo Nsava mu Disitulikiti y’e Kayunga agamba nti yegatta ne banne; Kibuuka John, Nasur Abdallah Mugonole, ne Masajjage nebenyigira mu bubbi obwemmundu obuwerako.
Ono agamba nti basasulwa obukadde 200 oba ddoola egya ddoola okutta Kagezi ngomuntu owamaanyi ye yababasasula olwa Kagezi okumunyiiza olwokwenyigira mu misango gy’Abayisiraamu.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe