Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 318 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Emmundu ereese akasattiro mu Palamenti

September 26, 2017 · Mubiru Ali

Wabaddewo akavuyo mu Palamenti olwaleero ng’ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti balumiriza omubaka wa Mukono ey’amambuka Hon. Ronald Kibuule okukukusa emmundu n’ayingira nayo mu kisenge mwebateeseza era wano emirimu gya Palamenti negisannyalala okumala akaseera nga n’okukasuka obutebe kutandise, ekokonde n’ensambaggere.

Omubaka akwasisa empisa ku ludda lw’ababaka abavuganya Gavumenti, Hon. Ssemuju Nganda ategeezezza Sipiika n’olukiiko nti Omubaka Kibuule yamutiisatiisizza nga bwagenda okumutta era wano Ssemuju n’ategeeza nga olutuula bwerutayinza kugenda mu maaso nga tebamaze kuggya mmundu ku Hon. Kibuule.

Oluvannyuma lwa bino Sipiika Kadaga ayimirizza olutuula lwa Palamenti era n’alagira abakulira eby’okwerinda mu Palamenti “Sergeant at arms” okwaza ababaka bonna, ekikoleddwa, oluvannyuma emirimu negiddamu okutojjera nga batandikidde ku kuteesa ku nsonga z’amafuta bweziyimiridde