Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 140 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Emmese egula bbeeyi e Karamoja

December 12, 2016 · Mubiru Ali

Wano mu Yuganda mu bitundu ebimu nga mu Buganda emmese kivve era okulabikako oluusi kiba kisiraani kyennyini, naye e Karamoja balaba ku ndabye ku ki.

E Karamoja nga emeese eteereddwa mu mbeera ey’okulya nga enjokye bwebagirabako basagambiza ng’akimezezza okw’enjala nti bwessiikoze nnaawuuta!

Omusasi waffe Ernest Kayanja yababaddemu nebamutegeeza nti emmese zibawoomera okukamala era kyattunzi nnyo nga kilo egula wakati wa 3000 ne 4000 nti zirina ne ssizoni nga wano abantu bagenda nebaziyigga mu nsiko ggwe wamma nebaleeta mu katale.

Abasinga okuziwoomerwa bagamba nti ate bwebazinywerako ekikopo kya caayi beenuguuna. !