Breaking
News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among olunaku lweggulo yalabiseeko mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lwenaku 83, ngayita ku mukutu News: Tosubwa concert ya Ray G ku Sunday eno nga 9 August ku kisaawe e Kololo. News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 895 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Emisomo gy’okulima emmwanyi mu Ssaza lye Bugerere gikomekkerezebbwa .

April 30, 2022 · Mubiru Ali
Ekitongole ky’Obwakabaka ekya BUCADEF kyateekateeka emisomo 5 mu Ssaza lye Bugerere mu Ggombolola ya Mumyuka Kayunga, Ssaabagabo Kayoza, Busaana, Mutuba II Nazigo, ne Musaale Kangulumira okuva nga 25th – 29th May, 2022 n’ekigendererwa eky’okutumbula ekirime ky’emmwanyi mu Buganda nga bayigiriza abantu ba Kabaka okulima emmwanyi ez’omulembe okuzifunamu ekiwera.
Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja – Minisita w’Ettaka, Obulimi ne Bulungibwansi bwabadde aggalawo enteekateeka y’emisomo gino mu ggombolola ye Kangulumira akubirizza abantu ba Buganda obutakoowa kulima mmwanyi newankubadde waliwo okusomoozebwa okutali kumu. Mu ngeri yeemu abasabye okunyweza obusenze bwabwe ku ttaka nga bewandiisa mu kitongole kya Buganda Land Board.
Abamu ku basomeseza; Omuk. Charles Kironde – Ssenkulu wa Mwanyi Terimba Limited, Omw. Charles Ssekimuli – Omulimisa we Ssaza Bugerere, Omw. Ssekamwa John, n’Omuky. Harriat Namusisi – Omulimisa wa BUCADEF.
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka Asooka n’Omumyuka Owookubiri owa Mugerere.