Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 208 listening Simba FM Live

Emirambo gyabafiiridde mu mataba e Mbale bakazuula 22

August 1, 2022 · Mubiru Ali

Abatuuze mu kibuga Mbale bakyakola butaweera okulba nga banyulula emirambo gyabanaabwe abatwaliddwa amataba olunaku lw’eggulo. Enkya yaleero bakedde kunnyulula emirambo 11 nga kati emirambo egyakazuulibwa giweze 22.

Waliwo abasajja 3 e Mbale abewaddeyo okulaba nti bayamba okunyulula emirambo gyabanaabwe abafiiridde mu mataba olunaku lweggulo. Abatuuze bakukulumidde Gavumenti olwokulwawo okubawa obuyambi n’okubayambako okunnyulula banaabwe nga kati besonda bwesonzi okugula emiguwa.

Abatuuze nga bagezaako okuggyayo emotoka eyabidde mu mugga Nabuyonga oluvannyuma lwokunnyulula emirambo 10 egibadde mu motoka eno.