EMBIZZI EZETULISIZZA BAZIBUZAABUZA – GEN. MUSEVENI

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Eri Bannayuganda mwenna naddala Abazzukulu.
Olwaleero ku ssaawa nnya ezookumakya, waliwo embizzi (bebabuzaabuza) ezetulisizza okuliraana offiisi ya IGG n’endala okuliraana CPS. Ku ssaawa nga nnya n’ekitundu CMI/ Uganda Police Force balumizza nebakwata omutujju owookusatu mu bitundu by’e Katooke, Bwaise ne bbomu ye. Oluvannyuma yafudde, wabula yatuwadde obubaka obulungi. Amannya ge ye Musa Mudasiri. Eyetulisirizza ku CPS ye Mansoor Uthman ate owo ku offiisi ya IGG ye Wanjusi Abdallah.
Bano bonna bebamu ku b’ekibinja kya ADF ekyalumba Gen. Katumba mu June. Nga bwenategeeza eggwanga, bwebalumba Gen. Katumba, abatujju bano beyanika mu kadde nga ebyebyokwerinda byaffe biteerezeddwa bwobigeerageranya nebyaliwo mu 2018 bwenayogerako eri Palamenti.
Okuva lwebalumba Gen. Katumba, bino byebituukiddwako;
(i) 7 batiddwa nga begezaako okulemesa okubwakwata.
(ii) 81 bebakakwatibwa.
(iii) 3 batiddwa bbomu zebabadde batambuza.
Ababiri abafudde leero babadde badduka butabakwata. Tubadde tubanoonya okuva lwebagezaako okutta Katumba.
Abakattibwa okuva lwebagezaako okutta Katumba;
1. Nsubuga Mohammed
2. Manihaji
3. Moses Mudasiri (owaleero)
4. Master Lubwama
5. Juma Saidi
6. Serwadda Juma ne
7. Amin Kawawa Mustapha.
Oyo eyetulisiza mu bbaasi ye Matovu Muzafari.
Ekyenaku abantu 3 bafudde leero ngogyeeko abatujju abetulisizza n’abalala 36 nebalumizibwa.
Ngogyeeko okuba nti tuyigga abatujju bano, okubeera obulindaala kuyambye okukendeeza ku bulabe obwandikoleddwa.
Balumiramwoyo abo ku CPS ne offiisi ya IGG okwetulisiza ebweru wa CPS webakeberera ne ku Offiisi ya IGG wabweru kyavudde kukubeera bulindaala ku miryango nga babakebera.
Nabwekityo abantu mwenna mulina okukebera abantu ku miryango gya ppaaka za bbaasi, woteeri, amakanisa, emizigiti, obutale nawalala.
Poliisi ejja kuvaayo n’ebiragiro ebinagobererwa ku bifo awakebererwa wamu n’okuyamba okukuuma ebizimbi n’abantu. Tukwatagana nebalirwana baffe okulba nti tulwanyisa abo abakolera ebweru w’eggwanga.
Ekirungi beyanise bulungi nga tuli betegefu, bajja kuggwawo.”
 
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply