Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,099 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Embeera y’omubaka Nambooze yeeraliikiriza

April 25, 2017 · Mubiru Ali

Embeera y’omumyuka wa Pulezidenti wa DP mu masekkati g’eggwaga ate nga ye mubaka wa Municipaali ey’e Mukono mu Palamenti, Betty Nambooze Bakireke, yeeyongedde okubeera embi.

Mu kafubo kaabaddemu ne Luboggola Simba , omwogezi wa DP mu kibuga Mukono era nga ye muyambi w’omubaka Nambooze, Robert Namugera Kakeeto asangibwa mu ddwaliro lya City Medicals e Mukono, ategeezezza nga embeera omubaka gyalimu mu kiseera kino bwetawoomya Nakabululu oluvannyuma lw’okukubwa essasi lya Labba ku Sande ya ssabbiiti eyise e Masaka.

Namugera ategeezezza nti omubaka afunye obulumi obutagambika mu mutwe era nga olunaku lweggulo baasoose kumutwalako mu ddwaliro erimu mu kibuga Kampala wabula webukeeredde leero nga embeera ye yeeyongede okubeera embi.