Embeera yakiyongobero mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga

Ababaka mu Lukiiko Olukulu olw’Eggwanga benyamivu ku ngeri Mubaka munaabwe Ibrahim Abiriga n’omukuumi we gyebatiddwamu. Mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataaha Museveni agambye Abiriga abadde musajja mukkakkamu nnyo era yebuuza abatemu bamulanzeeki oba bagezaako kutegeeza Bannayuganda nti okukolera eggwanga lyo n’omutima gumu musango.

Ababaka bamwogeddeko ng’abadde omusajja ow’amazima, ayagala ekibiina kye ekya NRM awatali kwekiriranya kwonna ate nga agatta abantu bonna.

Ye Omubaka w’e Buhweju County Francis Mwijukye, atadde akaka eri abo abagamba nti abasse Abiriga n’omukuumi we batitiizi, basiru oba bajega aba kyayogerako takitegeera bulungi. Ayongedde n’agamba nti ky’ekiseera tuzuukuke kuba bano batemu baddala.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Abantu beeyiye ku makubo okwaniriza Ssaabasajja