Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 281 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Embeera mu Ggwanga essusse okubeera embi – Winnie Kiiza

January 16, 2024 · Mubiru Ali

Bannabyabufuzi okuva mu bibiina by’obufuzi ebivuganya Gavumenti eby’enjawulo okuli Forum for Democratic Change, National Unity Platform, ne Alliance for National Transformation (ANT) bafulumizza ekiwandiiko ekyawamu nga bemulugunya ku mbeera eri mu Ggwanga.
Okusinzira ku kiwandiiko ekisomeddwa Munnakibiina kya ANT, Hon. Winnie Kiiza bano bagamba nti embeera y’obunkenke esusse mu Ggwanga nga buli lukya abantu bawambibwa nga n’abamu battibwa kyokka nga nebwebavaayo okuteeka Gavumenti ku nninga tewali kikyuuka.
Mu kiwandiiko kyebafulumizza, bavumiridde embeera y’ebyenfuna wamu n’ebyentambula mu Ggwanga byebagamba nti mbi nnyo ekisusse era nebawera nti bagenda kukolera wamu okulwanirira nkyuukakyuuka ku nsonga ezo.