embeera eriwo ereetebwa Yuganda – minisita wa rwanda

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga ez’ebweru n’enkolagana n’amawanga amalala mu Gavumenti ya Rwanda Richard Sezibera avuddeyo nayogera ku mbeera eriwo wakati wa Yuganda ne Rwanda.

Ono agamba nti bagaddewo ensalo olw’embeera nti Bannansi ba Rwanda bangi bakwatibwa mu Yuganda, nebatulugunyizibwa bangi nebabakaka okubazza e Rwanda.

Ayongerako nti; Yuganda ewa obubuddamu ebibinja by’abayekera abaseketerera Gavumenti ya Rwanda nga agamba nti bakoze ennumba eziwerako nga basinziira mu Yuganda.

Sezibera agamba nti ensonga endala nti eby’amaguzi ebiba biyise mu Yuganda okugenda e Rwanda bibadde bikwatibwa okumala ebbanga eggwanvu naddala ebyamaguzi Rwanda byeba egenda okutunda ebweru w’eggwanga nga biyita mu Yuganda.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Sipiika goba Munyagwa ku bwa Ssentebe bwa COSASE – Bavubuka