Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 295 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

’embeera bannayuganda gyebalimu tebetaagisa kubeera ba pulofeesa okumanya nti mbi’ – bobi wine

March 13, 2019 · Mubiru Ali

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; ‘Ninga Munnayuganda yenna omulala alwanirira okukyuusa obulamu bw’abantu. Nzize okubeera eddoboozi ly’omuntu wawansi, kuba omuntu wawansi tekimwetaagisa kubeera Pulofeesa okumanya nti ali mu mbeera mbi nnyo era yetaaga enkyuukakyuuka. Nze siri Pulofeesa era omuntu yenna andowoleza okubeera ekyo oli mukifo kikyaamu.
Nnyinza obutabeera munnunuzi wa muntu yenna, naye ndi muntu azze okukola ekisoboka okulaba nti tukyuusa embeera. Sinze nina okunnyonyola lwaki Bbanka ya Yuganda enkulu tekola, sinze nina okunnyonyola lwaki ssente ya Yuganda enaabuuse kuba nkimanyi bulungi nti abantu abatuufu bwebaba baweereddwa omukisa buli kimu kigenda kukyuuka.
Bwwetuba twetaaga omuntu yenna okunnyonyola ebikwatagana n’ebyenfuna by’eggwanga, tulina abantu nga Hon. Muwanga Kivumbi asobola okubinnyonyola. N’olwensonga eyo, tulina abantu abasobola okukola emirimu gino lwakuba tulina obukulembeze obukyaamu.’