Kkooti enkulu e Mbarara yagobye omusango ogwawabibwa Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Virginia Plan Mugyenyi nga awakanya okulondebwa kwa Dr Elioda Tumwesigye Munnakibiina kya national resistance movement nga omubaka wa Sheema municipality nga egamba nti Mugyenyi yalemereddwa okuleeta obujulizi obuluma Dr. Elioda n’akakiiko akavunaanyizibwa ky by’okulonda mu Ggwanga.
Mugyenyi yawaaba omusango nga agamba nti okulonda kwalimu okugulirira abalonzi, okubatiisatiisa wamu n’akakiiko k’ebyokulonda okulemererwa okutegeka akalulu akamazima n’obwenkanya.
Kkooti yamulagidde aliyirire Dr. Elioda wamu n’akakiiko k’ebyokulonda ensimbi zekoonoonye.
Ye Mugyenyi yagambye tajja kussa mukono okutuusa nga afunye obwenkanya era nga wakujjulira ku nsalawo ya Kkooti.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.