Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 147 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Ekyeya kisattiza ab’e Mubende

July 17, 2016 · Mubiru Ali

Ekyeya kirumbye ebyalo ebiwerako mu Disitulikiti ey’e Mubende era wano abantu basitukiddemu nga eyatega ogwekyayi bateme empenda mwebanaayita okwetakkuluzaako ekizibu kino.

Mu Gombolola ye Mannyogaseka – Kiganda, eno abaayo amazzi kati bakozesa ge gamu n’ebisolo so nga omutindo gwago ssimulungi ekirese okweraliikirira nti kyandibaviirako okulumbibwa namunkukumbo ow’endwadde .

Ssentebe w’olukiiko olukulembera eggombolola ye Mannyogaseka , Tandeka Jotham agamba nti nga bbo abakulembeze bagasseeko okusima enzizi bwaguuga nti  kiyinza  okuyambako ekitundu mwebali kyokka mwennyamivu kubanga ebintu bino biri kinnya nampindi n’ennyanja Wamala kyokka obusobozi obwetuusaako amazzi eg’ennyava nabwo bulabika nga bwabafuukira ekizibu osanga singa baali baagafuna  bandibadde mu mbeera eno .