Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 178 listening Simba FM Live

Ekkanisa ewakanya etteeka ly’okuggyamu embuto

September 14, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, His Grace Stanley Ntagali asabye Gavumenti ensonga ezikwatagana n’okussaawo etteeka erinakkiriza abantu okuggyamu embuto nga bwebaagadde, yandiriggyemu enta kubanga eyinza okweyiwa amanda mu mbugo.

Ssaabalabirizi bino abyogedde akawungeezi ka leero bw’abadde mu  lukungaana lwa bannamawulire ku yafeesi enkulu ez’obwa Ssaabalabirizi e Namrembe mu Kampala , n’agamba nti ekkanza esimba ne nnakakongo ku bikwata ku nteekateeka ya Katonda , nti katonda tabanga na bintu bya ngeri efaanana bw’etyo naye olwokuba abantu baatondebwa nga balina engeri zaabwe abamu ku bo batuuse okukyama ne beenoonyeza ebyabwe .

Ayongerako nti ekkansa ewakanya ne ssekuwakanya yenna enteekateeka egenze etinta mu ggwanga ey’okusomesa abaana ebintu by’okunyumya akaboozi ebigenda okubaviiramu okufuuka ebinjirinjiri .

Wabula ate bw’atuuse ku ky’okunyaga ettaka awo nawo n’asimabwo amannyo ng’agamba nti ekibba ttaka kikudde ejjembe ate nga n’abamu abalibba bali mu kkanisa .