Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 173 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ekizimbe kigwiridde abantu e Makerere, 3 bafiiriddewo

April 11, 2016 · Mubiru Ali

Kyaseka Towers ekisangibwa e Makerere mu Kampala kyerindiggudde ku ttaka mu ttuntu lya leero era abasatu nebakakasibwa nga bafiiriddewo ate abalala musanvu nebaddusibwa mu ddwaliro nga taasulewo yaali ku mimwa gy’abantu .

Police n’ekitongole ky’akabonero akamyufu ekya Uganda Red Cross baggyeyo emirambo 3 ate abalala musanvu nebataasibwa , baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago  nga biwala ttaka .

wabula bwetwogeddeko  n’abamu ku bazimbi okuliraana awagudde enjega  eno bagamba nti nannyini kizimbe kino muyindi nga kya myaliiro esatu era  kubaddeko ekirabo ky’emmere , ettundiro ly’eddagala (Pharmacy), ekkuumiro ly’emmotoka (Parking )wamu ne Business endala nnyingi

Ebidduka ebiwerako byonoonese nga bisikiddwa nebitwalibwa ku Police e Wandegeya ..

Lino litusakiddwa Nasser Kayanja  .