Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 611 listening Simba FM Live

Ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obufere mu Kampala kikutte abantu 3 ababbira ku byuuma bya ssente ebya ATM.

June 14, 2018 · Mubiru Ali

Kino kyadiridde omukyala omu okwemulugunya nti ATM card ye yamubibwako omuntu gwatamanyi bweyali afuna ssente ze ku kyuuma kya Centenary Bank e Kyaluwajala.

Mukwekeneenya ebifaananyi bya CCTV camera z’ekyuuma ebya nga 24-feb-2018, Poliisi yasobola okuzuula Etunu Denis 32, ono yakozesa omukisa nti ekyuuma kyali kikyankalanye namugamba anyige nnyo nga bwateekamu ‘secret code’ nga bwagikwata namugamba nti card egaaniddemu nagibba nagenda ku kyuuma ekirala naggyayo obukadde bubiri.

Etunu abadde anoonyezebwa ku misango gy’obubbi 35 era nga kati akuumirwa ku Poliisi ya Kira Road. Ate yo Poliisi ya CPS nayo yakutte Tonny Muyingo lwakufera Geofrey Mubiru obukadde 18 era nga Muyingo naye abadde mufere anoonyezebwa era nga abadde yakakwatibwa emirundi 9 mu myaka ebiri. Ono abadde yefuula ayagala change mu bbanka nawa abantu ssente ez’ebiccupuli ono abadde akola ne Mukiibi Hassan.