🚨 Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Ggwanga ekya National Drug Authority (NDA) kyakutte abantu 2 abagambibwa nti babadde bajjingirira wamu n’okutunda eddagala erikozesebwa mu kulongoosa abantu wamu n’okukola ku biwundu nga baliguza amalwaliro wamu ne Pharmacy ezenjawulo mu Ggwanga.
Abakwatiddwa kuliko: Ssali Rodney ne Otanga Cornerious, nga bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa NDA nga eyambibwako Uganda Police Force mu bitundu by’e Lugala wamu ne ku Prime Complex ku luguudo Wilson mu Kampala.
Basobodde okubowa liita 1,000 ezeddagala erisuubirwa okubeera ejjingirire. Okunoonyereza kulaga nti bano babadde batambula ebintu ebyenjawulo okujingirira eddagala lino olwo oluvannyuma nebaliteeka n’obuddomola n’ebintu ebirala nebateekako obubonero bw’eddagala eryakakasibwa NDA.
Omwogezi wa NDA, Abiaz Rwamwiri alabudde nti abantu abajingirira eddagala naddala erikozesebwa mu kulongoosa abantu nti buno bubeera buttemu bwennyini kuba eddagala lino lyadiviirako endwadde obwobulabe eri abantu. Ono era ategeezezza

