Ekitebe ky’America kifulumizza ekiwandiiko ku bivvulu ebigaanibwa Poliisi

Ekitebe ky’Amerika mu Yuganda kivuddeyo ne kifulumya ekiwandiiko nga kijjukiza Gavumenti ya Yuganda okussa ekitiibwa mu ddembe lya Bannayuganda okukungaana wamu n’okwogera; “Olunaku olwalweero twegatta ku Bannayuganda abangi abali eyo nga bebuuza lwaki Gavumenti ensangi zino eyimiriza ebivvulu, pulogulaamu ku leediyo, okulemesa okwekalakaasa okw’emirembe wamu n’enkungaana, wamu n’okusindika ab’ebyokwerinda ababagalidde ebyokulwanyisa eby’amaanyi mu Bannayuganda abali mu mirembe.
Ssemateeka wa Yuganda awa buli omu eddembe okukuba enkungaana wamu n’okwogera awatali abakuba ku mukono. Tugatta eddoboozi lyaffe ku Bannayuganda okujjukiza Gavumenti okuwa ekitiibwa eddembe lyabwe. Abakulembeze abatuufu tebanyigiriza bantu, babawa ebeetu okwenyigira obutereevu mu by’obufuzi eby’ebibiina awatali kutya.
Kino wekigidde nga Poliisi yakayimiriza ekivvulu kya Bobi Wine kya Easter Monday ate olunaku olwaleero nemugaana okuva mu makaage okugenda ku kitebe kya Poliisi e Naguru okutwala yo ebbaluwa nga agitegeeza nga bwategese okwekalakaasa okw’emirembe nga alaga obutali bumativu olwa Poliisi okumugaana okuyimba.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Court issues Criminal Summons to Local Singer Stecia Mayanja’s Husband Abasi Mubiru