Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,016 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Ekitebe kya Germany kitonedde Poliisi emotoka ne Piki piki

July 11, 2019 · Mubiru Ali

Ekitebe ky’omubaka wa Germany mu Yuganda olunaku lw’eggulo kyatonedde Poliisi ya Yuganda emotoka, Piki piki wamu ne kkamera. Mu bino kwabaddeko Double Cabin 2, Piki piki 10 wamu ne kkamera 4.
Bino byakwasiddwa omumyuka w’omuduumizi wa Poliisi DIGP Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi. Omubaka wa Germany mu Yuganda H.E Dr. Conze Albrecht bweyabadde awaayo ebintu bino eri Poliisi ku kitebe kya Poliisi e Naguru yagambye nti okuwaayo bino kyavudde ku nkolagana ennungi wakati w’amawanga gombi.