Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,118 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Ekisanja kya IGG kiggwako Sunday eno

July 3, 2020 · Mubiru Ali
Ekisanja kya Justice Irene Mulyagonja nga Inspector General of Government – IGG kiggwako ddimansi eno. Okuva mu nsonda ezesigika kigambibwa nti ekisanja kye kiggwako nga ku Sunday nga 5-July-2020.
Omulamuzi Mulyagonja yalondebwa mu April 2012, wabula nga talondebwa yali Mulamuzi wa Kkooti Enkulu gyeyali yakaweereza emyaka 4.
Bwaba avudde mu kifo kino agenda kukivaamu nga alina omulimu kuba yalondebwa ng’omulamuzi wa Kkooti ejjulirwamu mu October 2019. Kinnajjukirwa mu 2018 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavaayo namunenya olw’okulemererwa okulwanyisa obukenuzi n’obuli bw’enguzi mu offiisi za Gavumenti ez’enjawulo.