Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 260 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ekisaddaaka baana e Mayuge kitandise

June 13, 2017 · Mubiru Ali
Police e Mayuge eri mu Kunoonyereza ku nfa y’omwana omulenzi ow’emyaka omukaaga eyasalibwako omutwe gyebuvuddeko nga n’omulambo gwe gusangiddwa mu ssamba y’ebikajjo nga gutandise okuvunda. 
Omwana ono Muyita Juma  abadde muyizi mu masomero lya Mirembe Junior School e Kawempe ekiri ku nkingiizi z’ekibuga Kampala nga yabulawo ku Lwokubiri lwa ssabbiiti ewedde.
Kitaawe w’omwana ono Muyita Isa agombeddwamu obwala Police agiyambeko mu kunoonyereza kubanga ye kennyini kigambibwa nti yaggya mutabani we awaka ng’amuzzaayo ku ssomero e Kawempe ate oluvannyuma omwana n’asangibwa ng’asaliddwako mutwe.