Ekibba ttaka e Kyankwanzi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Akakiiko akanonyereza ku mivuyo gyettaka akakulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemereire kaakunyizza Andrew Tendo agambibwa okufuna ekyapa mu bukyamu ku ttaka okutudde enkumi ne nkumi z’abantu mu Distulikiti y’e Kyankwazi ngagamba nti lirye.

Ettaka lino litudde ku byalo bisatu omuli Mbogo bbiri, Bugondi LCI ne Kasambya LCI nga byonna bisangibwa mu gombolola y’e Butemba mu Distulikiti y’e Kyankwanzi nga liweza yika 777.

Akakiiko kakizudde nti akakiiko ka Disitulikiti y’e Kyankwanzi akavunaanyizibwa ku ttaka kekobaana ne Tendo okugoba abantu ku byalo 3 nti era ne yali Ssentebe wa Kakiiko kano Ferdinand Yiga yalimu mu mivuyo gino.

Share.

Leave A Reply