Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 182 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Ekibaluwa kiro kitwalo omunaku – Twagala emitwe gy’abantu 50

June 28, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi e Kamuli eri mu kunoonyereza ku bibaluwa bikiro kitwala omunaku ebyasuuliddwa ku Kyalo Kyamuluya mu waadi ye Buwanume mu Division ye Kamuli North nga bitiisatiisa okutta abantu 50 era nga betaaga emitwe gy’abantu 50.

Abantu abatanategeerekeka basudde ekibaluwa kino ekitaliiko nnaku za mwezi mu maka ga Mzee Lulireki Stephen 70, nga balaliika nga bwebagenda okulumba abantu 50 nga era erinnya lye lisooka ku lukalala.

Ku kiwandiiko kino kuliko amannya g’abaami 25 n’abakyala 25. Sp Ochienge Moses Sule DPC w’e Kamuli yatuuse dda ku kyalo kino okutandika okukola okunoonyereza.