Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 186 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ejjinja lisse ebbujje lya myezi 9 – Iganga

January 29, 2017 · Mubiru Ali

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Bulubandi ekiri mu  gombolola y’e Nakigo mu Disitulikiti y’e Iganga, omwana ow’emyaka 10 bwakasuse ejjinja nga akuba emiyembe nerikuba ebbujje lya myezi mwenda nerikalirawo.

Omwana ono ne banne abalala babadde bakuba miyembe mu Luggya wabula wabaddewo ebbujje ebbali era  e Jinja neririkuba nerikalirawo.

Omwogezi wa Police mu bitundu bya Busoga avumiridde abazadde abakuza abaana ab’ekyejo ssaako n’okulagajjalira amabujje.

Wabula Police ezze n’eggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Iganga nga bwekola okunoonyereza.