Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 150 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Eid Mubarak muyogeeyoge

July 6, 2016 · Mubiru Ali

Olwaleero lunaku lwa Eid Elfitir abasiraamu lwebakomekkerezza omwezi omutukuvu ogwa Ramathan. Olunaku luno lwalangiriddwa omwogezi wa Uganda Muslem Supreme Council esangibwa e Kampala mukadde Hajji Nsereko Mutumba.

Hajji Nsereko agamba nti eswallah za Eid zaakutandika ku ssaawa emu eyokumakya ku muzikiti omukulu e Kampala mukadde.

Wabula atugambye nti ekisiibo kino kibadde kinyuvu nnyo okuggyako obubenje obubaddemu obututte obulamu bw’abantu.

Ayongera nti mu mwezi omutukuvu bafuniddemu essanyu olw’okufuna ebifo by’obwa Minisita ebiweredde ddala omwenda mu Kabineeti ya Pulezidenti Museveni.