eggye lya sfc liriwo mu bukyaamu – nganda

FDC eyagala Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asattulule eggye lya SFC erimukuuma ng’egamba nti yalissaawo mu ngeri emenya Konsityusoni.
FDC etiisizza okutwala ensonga eno mu kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka ng’erumiriza nti okussibwawo kw’eggye lino kumenya Konsityusoni y’eggwanga (mu kawayiro 208) ekatakiriza muntu yenna kutandikawo ggye lyabwanannyini.
Omwogezi wa Forum for Democratic Change Ibrahim Ssemujju Nganda agamba nti eggye ly’eggwanga (UPDF) bwe lisaanidde okulekera awo okukuza olunaku lw’okutandikibwawo kw’olutalo lw’e Luwero olwa Febuary 6 kuba eggye lya NRA eryatandika olutalo lyaggyibwawo dda ne lisikizibwa erya UPDF mu Konsituyusoni.
‘’Bwe kuba kukuza lunaku lw’amagye eggwanga lisobola okufuna olunaku olulala ne luyitibwa ‘’UPDF day’’ sso ssi kukuza lunaku bayekera ba NRA lwe baggula olutalo ku gavumenti ya Obote nga balumba enkambi y’e Kabamba e Mubende kuba eggye eryakola eryo lyagyibwawo Konsityusoni ya 1995. Ng’okukuza olunaku olwo oba omenya Konsityusoni’’ Ssemujju bwe yagambye.
Yategeezezza nti Konsityusoni era tekirizza muntu yenna (k’abe Pulezidenti) okutandikawo eggye erirye ery’obuntu.
Kwe kuwa amagezi egye erikuuma Pulezidenti ligyibwewo emirimu giweebwe UPDF kuba ly’erimanyiddwa mu mateeka. Batiisizza okutwala ensonga ezo mu kkooti etawulula enkayana za Ssematteeka.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
‘Bannayuganda mubeere bamazima’ – Bobi Wine