Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 246 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Eggwanga lya Amerika litadde Uganda ku lukalala lwEnsi…

January 7, 2026 · Radio Simba

Eggwanga lya Amerika litadde Uganda ku lukalala lw’Ensi ezisoba mu 30 ng’abatuuze baazo kati balina okuteekayo omusingo okufuna visa eyokukyaala oba okusuubula. Bino byakakasiddwa US Department of State nga 6 January 2026 .
Kino kitegeeza nti kati Bannayuganda abasaba B1/B2 visa okutandika nga January 21 – 2026 bajja kuba balina okusasula omusingo gw’ensimbi eziri wakati w’obukadde 18, 37 ne 56 ng’ensimbi zino zakusalibwawo ba offiisa abakola ‘interviews’.
Ensimbi zino ziba zakukuddizibwa singa ogoberera ebiragiro bya ‘Visa’ ekuweereddwa okugeza; okufuluma Eggwanga lya Amerika mu budde nga visa yo tenaggwako. Ensimbi zino zisasulwa butereevu eri Gavumenti ya Amerika si kayungirizi yenna.
#ffemmwemmweffe
#TravelUpdate

Radio Simba News