Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 764 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

EFC Uganda Limited eggaddwawo

January 19, 2024 · Mubiru Ali
Bank of Uganda evuddeyo netegeeza nga bweggaddewo EFC Uganda Limited – MDI era negiggyako ne layisinsi okugisobozesa okuggalawo. Bank of Uganda ng’ekozesa obuyinza obugiweebwa ssemateeka mu kawayiro 72(1) ne 12 (1) (d) ne (g) obwa Microfinance Deposit-taking Institutions (MDI) Act, 2003 olunaku olwaleero nga 19-January-2024 egaddewo EFC Uganda Limited era negiggyako ne layisinsi y’okyuwola n’okutereka ensimbi. Kino kikoleddwa oluvannyuma lwa Bank of Uganda okukizuula nti singa EFC Uganda Limited agenda mu maaso n’okutereka ensimbi za bakasitoma kyandibafiiriza olwa EFC okulemererwa okutuukiriza ebisaanyizo ebifuga entereka y’ensimbi wamu nenzirukanya embi.
Bank of Uganda ne Deposit Protection Fund of Uganda bakutegeeza bakasitoma enteekateeka ezigenda okuteekebwawo okubayamba okufuna ssente zaabwe zebabadde baterekayo. Abo bonna ababanja basabiddwa okuteekayo okusaba kwabwe mu Office of the Director Financial Stability, Bank of Uganda mu naku 30 okuva ekirango kino lwekifulumiziddwa.