Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 367 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Eddwaliro ly’e Soroti ligaanye okuwaayo omulongo

March 30, 2021 · Mubiru Ali
TETUJJA KUMUBAWA KUBA MWABAGOBA:
Abakulira Eddwaliro lya Soroti bavuddeyo nebagaana okuwaayo omwana omulongo eyalongoseddwa okumwala ku munne bwebazalibwa nga begasse wamu eyafa eri ab’eddwaliro ly’e Mulago nga bagamba nti eddwaliro lya Soroti teririna ICU.
Kigambibwa nti Jajja w’Abalongo bano yagobwa mu Ddwaliro e Mulago oluvannyuma lw’omu okufa bwatyo naddayo mu Ddwaliro e Soroti gyebasoboledde okumulongoosa.
Abasawo nga bakulembeddwamu surgeon Dr. Epodoi abakoze okulongoosa kuno agamba nti omwana ali mu mbeera nnungi nga kati alya, nga nentambula ya Oxygen eri ku 90% nga kitegeeza agenda adda engulu.