Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 387 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Eddwaliro ly’e Mityana teririna scan ne Xray

January 6, 2021 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Museveni olunaku olwaleero wakuggulawo eddwaliro lya Mityana General Hospital eryamalirizibwa mu 2017, okusinziira ku Disitulikiti y’e Mityana lino lyamalawo obuwumbi 2 mu obukadde 100 era nga libadde likola okumalira ddala emyaka 3.
Lino likola ku balwadde abali wakati we 300 ne 450 okuva mu Disitulikiti okuli; Mityana, Kassanda, Kiboga, Kyankwanzi, Gomba n’ebitundu ebimu eby’e Mpigi.
Wabula okusinziira ku Mubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti y’e Mityana Isha Ntumwa agamba nti mu bizubi ebimu byebasanga mu Ddwaliro lino mwemuli okuba nti ebyuuma okuli ekya Ultra sound scan n’ekya X-ray byafa emyaka 2 egiyise era nga basuubira nti okugendayo kwa Pulezidenti kwanditereeza embeera.